Ababaka b'e Wakiso basisinkanye akakiiki k'enguudo
Ababaka ba palamenti mu disitulikiti y’e Wakiso basisinkanye ab’akakiiko k'enguudo e Wakiso okusala entotto kubutya bwebayinza okusaliramu ekizibu ky’enguudo zaabwe eziri mu mbeera embi.
Bano bakkaanyiza kimu okusooka okusisinkana abakungu bonna abasula mu Wakiso okubatunuza mu kizibu kino basalire wamu ekizibu wamu amagezi ku kizibu kino.