Abaana basatu n'abantu abakulu mukaaga banunuddwa okuva mu sabo
Abaana basatu n'abantu abakulu mukaaga banunuddwa ab'eby’okwerinda mu disitulikiti y'e Mpigi okuva mu sabo g’omusamize Sam Lutaaya nga banaatera okufa enjala. Bano mbu babadde bagaanibwa lubaale okulya emmere enfumbe saako n'okunaaba. Era waliwo ekifo ky'eby’obuwangwa ekigaddwa ab'eby’okwerinda kyebasanzeemu empuku bwaguuga ezibadde ez'obulabe eri obulamu bwa bantu, nga bw'abasangiddwayo basabiddwa okukyamuka era poliisi n’ekyezza okukinoonyerezaako.