Ab'e Mukono basamba nsiko, banoonya bantu baabwe
Oluvanyuma lw’abantu abasoba mu 7 okubuzibwawo kati omwezi mulamba, waliwo emirambo egyigambibwa okuba nga gyaasuliddwa mu kitoogo e Nakitutuli ekisangibwa mu ggombolola y’e Nama e Mukono.
Abatuuze okuva ku byalo okuli Kabembe, Nama, ne Kisowera olunaku lw’eggulo balumaze mu kusaggula nsiko nga bayigga abantu baabwe abaabuzibwawo mu biseera byokunoonya akalulu.