Yunivaasite ye Makerere: Ssenkulu waayo atuuziddwa, ekizimbe ekikulu kiggguddwawo
Omukulembeze we ggwanga yoweri museveni asabye abakulu ku ssettendeko e Makerere okutunula mu masomo agasomesebwa abayizi, bafube okulaba nga galina kyegabagattako awamu n’okugasa eggwanga. Ono agamba amasomo mangi galeeteddwa wabula nga tegalina kyegagatta oba okwongera ku mutindo gw’omuyizi kwossa n’ensi. Bino abyogeredde ku mukolo gwokutuuza chancellor w’ettendekero omuggya, Dr Chrispus Kiyonga , awamu nokuggulawo ekizimba ekikulu ekyakazibwako Ivory Tower, ekyayokebwa omuliro omwaka gwa 2020.