Wuuno Fred Katongole eyabikibwa nti mufu ku bbomu
Nga abantu bali mu kujjaguza Ssekukkulu , Fred Katongole y'omu ku beebaza Katonda okumutuusa owlaeero nga akyali mulamu. Ono y'omu kubasooka okubikibwa nti afudde bbomu bwezatulika mu Kampala nga 16 omwezi oguwedde wano mu Kampala. Katongole nga muserikale wa Poliisi asuubirwa okuva mu ddwaliro esaawa yonna oluvanyuma lw'omwezi mulamba. Ye ne famire ye tebakoma kwebaza Katonda.