WARAGI EYASSE ABANTU: Waliwo ebirungo ebyasukka nga bamusogola - UNBS
Okunoonyereza ku waragi ayitibvwa City Five eyatta abantu mu kibuga Arua kulaga nga akabaate bwekaava kukukozesa ekirungo kya Metthanol nga kino kirimu ekitamiiza ekiri waggulu ennyo kw'ekyo ekikirizibwa eri obulamu bw’abantu. Okusinziira ku kitongole ekivunanyizibwa ku mutindo gw'ebintu mu ggwanga ki UNBS kyandiba ng'abateberezebwa okukola omwenge guno ekikolwa kyabwe kyali kigenderere.