Wabaddewo okulwanira bookisi y’obululu mu kulonda kwa palamenti y’omukago gwa East Africa
Okulonda ababaka omwenda abanaakiikirira Uganda mu palamenti y'omukago gwa East Africa kwetobeseemu emivuyo n'ebigambibwa nti mubaddemu okubba akalulu. Ababaka ba palamenti bokka bebabadde n'olukussa okwetaba mu kulonda kuno wabula gyebiggwereedde nga n'abatali babaka bazze okulonda ekireseewo akanyoolagano. Omubaka abadde ateekeddwa okusooka ku kasanduuke okukuba akalulu, kitegeerekese nti asanze akabokisi omussibwa obukonge kajjudde dda.