Twagala baana baffe: Abazadde balumirizza omuzungu
Waliwo abazadde ab’oku kyalo Buule mu ggombolola y’e Mpatta e Mukono abalumirizza munnansi wa Turkey okubuzaawo abaana baabwe 3.
Ono agambibwa okuba nti yasooka kusibisa bazadde nga abalanga kusaalimbira ku ttaka lye n’okwonoona ebyaliriko. Omulamuzi awadde omuzungu okutuusa nga ennaku z’omwezi 2 omwezi ogujja okuleeta abaana bano mu kkooti oluvannyuma lw’okutegeeza nti waliwo amaka gye yabakuumira oluvannyuma lw’abazadde baabwe okukwatibwa. Bino bibadde mu kkooti y’e Ntenjeru-Kisoga town council.