TEMUGEZA KUJJANJABA BALINA EBOLA: Maama Fiina akomye ku basawo b’ekinnansi
Akulira abasawo b'ekinnansi mu Ggwanga Sylvia Namutebi amanyiddwa ennyo nga Mama Fiina asabye abasawo b’ekinnasi okugoba abantu bonna ababatuukirira okubajjanjaba kyokka nga balina obubonero obwekuusa ku kirwadde ekikambwe ekya Ebola. Ono akinogaanyizza nga bwewatali musaawo wa kinnansi alina ddagala livumula kirwadde kino ekya Ebola. Maama Fiina Waakoledde okulabula kuno, nga kitegerekese nga abamu ku balina ekirwadde kino okuva e Mubende gyekyatandikira bwebaasalwo okweyuna abasawo b'ekinnasi ekyakiviirako okusasaana n'abantu okufa.