Taata yeetugidde mu kaduukulu
Waliwo abasibe babiri mu kitundu ky'e Masaka abafiriidde mu mikono gya poliisi. Kigambibwa nti omusibe omu nga abadde mu kkomera e Bukomansimbi yeetugidde mu kaduukulu gy'abadde ku misango gy'okukabasanya omwana gweyezaliira. Omulala Ronald Kyeyune ye abadde addusibwa poliisi mu ddwaliro oluvannyuma lw'okukubwa abatuuze emiggo abamusanze nga aliko by'anyakula.