SWAFAL TAMALE: Akabenje tekamulemesezza kirooto kye
Munnayuganda Swafal Tamale y’omu ku bagenda okuvuganya mu mpaka z’emifumbi zi Central Region Championship ku ISK Gym mu Ndeeba ku Lwomukaaga luno. Tamale yatemwako okugulu oluvannyuma lw’akabenje ka boda boda mu 2020 naye azze awangula empaka ez’enjawulo mu muzannyo guno. Ono era yayitiddwa ne mu mpaka za East Africa e Kenya ezitandika nga October munaana.