SSENTE Z’OKUZIIKA OULANYAH: Zikyali matankane, palamenti egamba ebadde ekozesa zaayo
Ababaka abava mu Acholi beekandazze ne bava mu nsinsikano gyebabaddemu n'abakulu mu minisitule y'ebyensimbi oluvannyuma lwokutegeezebwa nti sibakuweebwa ssente z'ebaasaba ku mbalirira y'okuziika n'okukungubagira eyali Sipiika Jacob Oulanyah. Bano balaze obweraliikirivu nti omuntu waabwe yandiziikibwa mu ngeri etamugwana era bwe batyo ne basaba bannayuganda okusondera eby'okuziika omugenzi Oulanyah. Yo Palamenti nayo etegeezezza nga ssente ezaayisibwa bwetaziraba nga kati bakozesa zaabwe mu kutegeka emikolo gyokuziika , ekisannyalaza emirimu emirala mu palamenti eno . Gavumenti yasooka netegeeza nga akawumbi kamu mu obukadde lunaana bwezigenda okukozesebwa mu kuziika ate gyebuvuddeko netegeeza nga zino bwezaali zisaliddwa okutuuka ku kawumbi kamu mu obukadde ebikumi bibiri.