SSAABASUMBA SSEMOGERERE: Yiino emboozi ye ku byatunuulidde ng’amaze okutuuzibwa
Mu kitundu kyaffe eky’okubiri eky’emboozi yaffe ne Rt. Rev. Paul Ssemogerere tugenda kubuulira enteekateeka ze nga Ssaabasumba omugya ow’essaza ekkulu erya Kampala n’okusomooza okumwolekedde. Ssemogerere agamba nti Kampala mwagya ssi mwangu olw’abantu ab’enjawulo abamulimu omuli abagezigezi, n’abo abagala okuyitira ku banaabwe okufuna, era asabye abantu okumusabira ennyo asobole okwenganga okusomooza ng’okwo. Era atubuulidde nga Eklezia bwetajja kusirika nga eddembe ly'abannansi lityoboolwa oba okukolebwako ebyo ebibanyigiriza. Herbert Kamoga katutwale mu maaso n’ekitundu kino.