Ssaabasumba Ssemogerere atongozza enteekateeka ey’okukungaanya ebirowoozo ebigenda e Roma
Eklezia Katolika mu ssaza ekkulu erya Kampala etandise okukunganya ebirowoozo mu ba kristu ebigenda okutwalibwa e Roma mu lukiiko lw'abasumba olusubirwa okutuula mu novemba w’omwaka ogujja. Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemwogerere yatongoza enteekateeka eno ku lutiko e Rubaga.