Ssaabaduumizi wa poliisi asiibye Sembabule, okukakkanya efujjo mu kalulu
Aduumira poliisi mu ggwanga Abas Byakagaba agumizza abantu b’e ssembabule nga poliisi bwegenda okukola ekisoboka okulaba nga okulonda kw’akamyufu ka NRM kubeera kwa mirembe. Ono abasuubizza nga bw’agenda okubongera abaserikale, nga kw’ogaseeko n’okubawa omuduumizi wa poliisi ow’enjawulo agenda okukakasa nga eby’okwerinda binywezebwa. kyoka ono agaanye eky’okujja amagye mu kukuuma okulonda kuno.