Pulezidenti ye yandagira okuwa Bamuturaki omulimu - Gen Wamala
Minisita w’ebyentambula Gen. Edward Katumba Wamala abuulidde ababaka abatuuula ku kakiiko akalondoola emirimu gy’ebitongole bya gavumenti nti yafuna ekiragiro okuva ewa omukulemebze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okuwa Jennifer Bamuturaki omulimu gw'okukulembera kampuni y'eggwanga ey'ennyonyi. Katumba okwogera bino ababaka babadde bamutadde ko akazito annyoonyole ku engeri Bamuturaki gyeyafunamu omulimu mu kitongole ky'akulira n'abategeeza nga bwe yali tayinza kujemeera kiragiro kya mukulu.