Pulezidenti wa Kenya Ruto y’alondeddwa ku bwa Ssentebe bw'omukago gwa East Africa
Omukulembeze w’eggwanga lya Kenya William Ruto Y'alondeddwa ku bwa Ssentebe bw'omukago gwa East Africa ow'omwaka gwetugendamu era nga ono azze mu bigere bya Salva Kiira abadde Ssentebe w'omukago guno omwaka guno. Ruto agamba nti agenda kufuba okulaba nga emirembe gibukalaba mu mukago, ssaako n'okutumbula obusuubuzi obugendereddwamu okukyusa obulamu bw'abantu ba East Africa. Bino bibadde munsisinkano y'abakulembeze ebaddewo leero mu kibuga Arusha mu ggwanga lya Tanzania.