Poliisi eyungudde abanakuuma emirembe e Sembabule
Akulira ebyokwerinda mu district ye Sembabule ate nga ye RDC w'ekitundu kino Jane Frances Kagaayi akakasiza abantu mu kitundu nti okulonda kw'akamyufu ka NRM kwa kutambula mu mirembe, era obuvuyo obuze bubeera mu kutundu kye Lwemiyaga tebugenda kulabikako.Asabye abantu obutatya bakeere bagenda balonde Bino bibadde munsisinkano y'ab'eby'okwerinda, kyoka nga n'abasirikale batandise okulawuna ebifo eby’enjawulo.