Poliisi erumizza omulala ku muyiggo okuzuula Wandera
Poliisi nga egezaako okunoonya ow'oluganda mu family ey’abantu 6 be twakulaga ku lwokuna lwa wiiki eno abaagombebwamu obwala okuva ku mu Zone ya Kamuli A ey’e Kireka mu munisipaali y’e Kira, ate kigambibwa eriko omuntu omulala eyakubiddwa amasasi mu lubuto mu butanwa nga ateeberezebwa okuba owooluganda lwa family poliisi gw’enoonya. Eyakubiddwa, baamusanze Namataba - Mukono era yaddusiddwa mu ddwaaliro ly’e Kawolo gy’ajjanjabirwa. Owa family poliisi gw’enoonya emuteebereza okwenyigira mu bubbi n’obunyazi.