Poliisi egamba etadde ekkomo ku nkozesa ya ttiyagaasi
Avunaanyizibwa ku by’obufuzi mu Poliisi Asan Kasigye abuulidde ababaka ku kakiiko ka Palamenti ak’eddembe ly’obuntu nga aba poliisi bwe baaweereddwa ekiragiro eky’obutayanguyiriza kukozesa mukka gubalagala mu kugumbulula abekalakaasi - agamba nti omukka guno gwa kuvangayo nga ebirala byonna bigaanye.