Omuzannyi wa October: Allan Okello y’alidde mu banne akendo
Omuzannyi wa Uganda Cranes ne Vipers Sports Club Allan Okello y’omu ku bannabyamizannyo abasiimiddwa ekitongole kya Real Star Sports Agency olw’omutindo gw’ayolesezza ku ttiimu zombi omwezi guno. Okello yali wankizo nga ttiimu ya Cranes ewangula emipiira gy’ayo ebiri nga bazannya South Sudan mũ z’okusunsulamu abanaazannya Afcon omwaka ogujja.
Abalala abasiimiddwa kuliko Augustine Owiny owa badminton ne Mike Mukula junior omuvuzi w’emottoka z’empaka.