Omutendesi Ayub Khalifa aliko entanda gy’asibiridde Crested Cranes
Empaka za Afcon w’abakyala zigyibwako akawuuwo ku Lwomukaaga luno. Wabula Uganda y’akuzannya Senegal mu muzannyo gwayo ogusooka ku Ssande. Bangi ku bazannyi ba Crested Cranes bayiseeko mu mikono gyomutendesi Ayub Khalifa nga mu kaseera kano y’atendeka ttiimu y’abali wansi w’emyaka 17 ey’eggwanga. Ayub aliko entanda gyasibiridde abazannyi ba Crested Cranes.