Omusambi w'omupiira Naome Naome Nagadya yesunga kifo mu Crested Cranes
Omusambi w’omupiira gwa bakyala Naome Nagadya y’omu ku bazannyi abaali abasaale nga tiimu ye eya She Corporates ewangula liigi y’omupiira gwa bakyala ey’omwaka guno. Wabula ekyewunyisa kili nti ono yali alangirdde nga bwanyuse okusamba omupiira olw’obuvune obw'amutuuza ku katebe okumala emyaka esatu naye yeesanga nga awonye nakomawo.