Omupiira gw’abakyala: Crested Cranes egamba tetidde kuttunka na Algeria
Omutendesi wa ttiimu y'eggwanga ey'omupiira gw'abakyala eya Crested Cranes amanyiddwa nga Ayub Khalifa agamba nti wadde Algeria gye bagenda okuttunka nayo olunaku olwenkya mu mpaka ez'okusunsulamu abaneetaba mu mpaka z'ekikopo kya Africa eza Afcon qualifiers y'amaanyi, abazannyi be bafunye okutendekebwa okumala okulaba nga bawangula ensiitaano eno.
Oluzannya luno lwakubeerayo olunaku olwenkya ku kisaawe kya Fufa ekyebyekikugu e Njeru.