Omuliro ku city-house mu Kampala: Wabaddewo akasattiro, omu afudde
Poliisi ekakasizza nga omuntu omu bwaafiiridde mu muliro ogukutte ekizimbe kya City house ku Luwum street wano mu kibuga wakati. Omuliro gutandise ku ssaawa bbiri ez’okumakya era gututte essaawa nga ssatu okuzikizibwa poliisi enzimyamooto olwa sipiidi eya yiriyiri kwe gubadde gutambulira. Wabula abasuubuzi n’abantu abalala ababadde bakolera ku kizimbe kino basigadde mu maziga olw’emaali yaabwe etokomokedde mu muliro gunno.