OMULIRO E KAMWOKYA: Abaamasannyalaze baali balabula dda abantu
Poliisi ekakasizza nga abantu babiri okuli omusajja n’omukazi bwebaafudde nga bakubiddwa masanyalaze oluvannyuma lw’omuliro okukwata mu zooni ya Kyamuka e Kamwokya . Kigambibwa nti bano okufa ebbugumu lyomuliro ogwabadde gwaka wansi gwanafuyiza waya z'amasanyalaze nezeegatta nezaaka nezigwa. Kyo ekitongole ekivunanyizibwa ku kubunyisa n’okutambuzza amasanyalaze ki Uganda Electricity Transmission kitegezezza nti kirudde nga kirabula abantu abesenza wansi wamasanyalazze gano agamaanyi n'obulabe obukirimu.