Omulangira Arnold Ssimbwa eyasimatuuka akabenje k’eryato aseeredde
Omulangira Anorld Ssimbwa omu ku bantu abaasimattuka akabenje k'eryato erya MV Templar akaaliwo nga 24 Novemba, mu 2018 aseeredde. Ssimbwa azaalibwa omulangira David Golooba muganda wa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II. Abajjukira Ssimbwa ono akabenje ako yanyumya ensisi gye kaali kamulesseemu nti era munda mu ye yali awulira nga Katonda amwongeddeyo ku budde akyuse obulamu bwe - abeere omuntu alabirwako