OMUDUMU GW’AMAFUTA: Ebbago erinaalung’amya entambuza yaago liyisiddwa
Palamenti eyisizza ebbago ly’etteeka erirung’amya entambuza y'amafuta n'okuzimba omudumu okuva e Hoima okutuuka e Tanga mu Tanzania - ebbago liyitiobwa East Africa Crude Oil Pipeline Bill 2021. Ababaka ku ludda oluwabuzi bakkaanyizza ne gavumenti ku buwaayiro obubaddeko okusika omuguwa gamba nga akakwata ku ttaka, ebbeeyi y'amafuta n'okukuuma obutonde bw'ensi