OLUTALO E CONGO: Amagye galiko enkambi gyegawambye
Amagye ga UPDF gategeezezza nga okuwamba emu ku nkambi z'abayekera enene eya Kambi ya Yua mu ggwanga lya Congo bwekali akabonero akalaga nti kati basinzidde okunoonya bayekera bano bonna webali. Mu bifaananyi ebiweerezeddwa amagye eri emikutu gy'amawulire, Col James Kasule avunaanyizibwa ku kikwekweto kino ki Shujaa awadde abayeekera amagezi okwewaayo kubanga bwebatattibwe wakiri bajja kufa enjala. Ye omwogezi wa UPDF Brig. Byekwaso ategeezezza nga abajaasi babiri bwebafiira e Congo naye nga bayeekera si beebabata.