OLUNAKU LWA BANNAMAWULIRE: Mumanye we mukoma nga mukola - Gav’t
Gavumenti etegeezezza nga bwessa ekitiibwa mu mulimu gwabamawulire wabula nga basaana okumanya webakoma nga bakola egyabwe. Olwaleero bannamawulire baakuno beegasse ku banaabwe mu nsi yonna okukuza olunaku lwabwe n'omulanga eri ababakozesa okubongeza ku musaala n’okutumbula embeera mwebakolera. Bano era baagala abakuuma ddembe b'eddeko ku ky'okubatuntuza.