Okwongezaayo ebbanga lya UWEC: Minisita Muluuli Mukasa waakuyitibwa akakiiko ka COSASE
Ababaka ku kakiiko akalondoola emirimu gy’ebitongole bya gavumenti ka COSASE baakuyita minisita avunanyizibwa ku bakozi ba gavumenti Muruli Mukasa, ababuulira butya bweyayongezaayo obudde bw’ekitongole ki Uganda Education Conservation Centre ekyagattibwa n'ekinnaakyo ki Uganda Wildlife Authority. Ababaka bagamba nti minisita okwongezaayo ebbanga lya bano okutuusa nga 30 omwezi ogw’omwenda yakikola tagoberedde mateeka. Abakulu okuva mu UWEC babadde balabiseko eri akakiiko kano okubaako bye baddamu ku engeri gye basasaanyamu ssente z’omuwi w’omusolo mu mwaka gw'ebyensimbi ogwa 2022/2023.