Okweyawulayawula kilemesezza bannamawulire okutuuka ku bigendererwa
Ng'e Ggwanga likuza olunaku lwa bannamawulire, abamu ku bannamawulire wamu n'abatunulira wamu n'okulwanirira eddembe lya bannamawulire bagamba bingi ebyetaaga okukolebwa okulongoosa omulimu guno ogulabika nga gugenda gudobonkana. Akulira ekitongole ekirwanirira eddembe lya bannamawulire, ki Human rights network for Journalists, Robert Ssempala agamba abamu ku banamawulire basusa enkolagana n'abo bebajako amawulire, ekivirako okwonona omulimu gwabwe. Bo bannamawulire abalala bagamba tewali kigenda kutuukibwako, okuleka nga bannamawulire beegasse wamu n'okutambulira ku mateeka n'enkola y'omulimu guno.