Okwewandiisa mu magye: 6 bakwatiddwa lwa kujingirira biwandiiko
Mu nteekateeka y’ekitongole kya UPDF okuwandiika abaagala okuyingira amagye okwetolola eggwanga,e Kamuli,mukaaga bakwatiddwa lwakusangibwa na mpapula njingirire nga zebabadde baleese okuyingirirako. 33 basuuliddwa lwakusangibwamu ndwadde ez'enjawulo ate nga 4 basuuliddwa lwakusukka myaka egyetaagisa.