OKWEWALA EBOLA E KABAROLE: Emikolo gy’obuwangwa egimu gidibiziddwa
Ab'obuyinza n'abebyobulamu mu Disitulikiti ye Kabalore baweze eky’abantu okunaaba engalo mu ngeri ey'olukale nga omu ku kaweefube w'okulwanysia ekirwadde kya Ebola. Lino lyelimu ku makubo agalangiriddwa akakiiiko akalwanyisa ekirwadde kya Ebola , nga katya nti engeri gyebali okumpi n'ensalo ya Dr Congo so nga ate tebali wala nnyo ne diitulikiti ye Mubende, basobola okufuna obuzibu ssinga wabaawo obulagajjavu.