OKWETEGEKERA OKUSALA EMBALU: Abagenyi okuva e Kenya ne Ghana batuuse
Abakulembeze b'ennono omuli owa Ghana ssako owa Nigeria batuuse kuno okwetaba ku mukolo ogwa Bamasaba ogw'okusala embalu ogugenda okubera e Bumutoto mu Mbale ku Lwomukaaga luno.Bano abatuuse ku kisaawe ky'ennyonyi ekiro ekikeesezza olwaleero bagamba nti ennono ky'ekimu ku bintu ebisobola okugata abantu mu by'enkulaakulana ssaako empisa.Abagisu baakutekawo enkolagana n'obukulembeze obw'ennono zino mu bintu ebitali bimu.