OKWESIMBAWO KU BWA NNAMUNIGINA: NRM erabudde ba Independent
Eggwandiisizo lya NRM lirabudde ba memba b'ekibina abasazeewo okwesimbawo ku bwa nnamunigina oba Independents ku bifo ebyenjawulo . Ssaabawandiisi w'ekibiina ki NRM Justine Kasule Lumumba agamba kino kimenya matteeka agafuga ekibiina kino . Ekibiina kirina ebibonerezo ebyenjawulo eri abo ababa baziimudde amatteeka omuli n'okubagoba . Waliwo aba NRM bangi omuli nabalina ebifo mu kibiina abasazeewo okwesimbawo nga ba Independent, oluvanyuma lwobutakiriziganya nabyava mu kamyufu ka kibiina.