Okwesimbawo ebbanga eddene: Baabano abatavangako mu palamenti
Wetwogerera nga abeegwanyiza okuvuganyiza ku kaada ya NRM mu Sheema South batuuyana bwezikala okumatiza balonzi nti bebagwanidde okuweebwa akakisa kano mu kulonda okw’okubaawo nga 17th sabiiti ejja. Mu bangi abavuganya kwekuli n’eyaliko minisita mu bifo eby’enjawulo Prof, Ephraim Kamuntu nga ono oluvanyuma lw’ebanga nga avudde mu palamenti nate akomyewo okwezza ekifo kino. Kati leero tutunuulidde ebimu ku bikwata ku musajja mukulu ono.