OKWERINDA EBBULA LY’AMAFUTA: Waliwo etterekero eriri mu kumalirizibwa e Kawuku
Waliwo etterekero ly'amafuta erinaatera okuggyibwako engalo mu bitundu bye Kawuku e Ntebe nga lino lisuubirwa okumalawo ekizibu ky'ebbula ly'amafuta mu ggwanga. Akulira Etterekero lino Captain Mike Mukula atubuulidde nti lino limiazeewo obuwumbi 350 era lyakukuuma liita z'amafuta obukadde 17 Bannyini tterekero lino era bazimbye n'amaato abiri okuyambako mu kutambuza amafuta okuva mu ggwanga lya Kenya okugatuusa kuno mu buli ssaawa 28 .