Okwekalakaasa mu kibuga: Abaakwatiddwa abalala baleeteddwa mu kkooti
Akawungeezi ka leero abantu abalala abalala 16 basimbiddwa mu kooti ya Buganda road mu Kampala ne baggulwako omusango ogwokweyisa ngekitagasa.
Bano bebamu ku baabadde bekalakaasa olunaku lweggulo.
Akulembeddemu bannamateeka babwe George Musisi ategeezezza nti omuwendo kati gutuuse mu 70 ogusimbiddwa mu kkooti era bonna basindikiddwa ku alimanda e Luzira.