OKWEDIIMA KW’ABASOMESA: Gavumenti ssi yakwanguyiriza kugoba basomesa
Minisita w'ensonga z'abakozi ba gavumenti Muruli Mukasa agamba tebagenda kukulembeza kyakugoba basomesa abakyalemedde mu kediimo wabula okusooka okwetegereza embeera olwo balyoka balaba ekiddako. Kyokka ategeezezza nti abawulira nga tebaagala kudda ku mirimu tebagenda kubakaka. Abasomesa era tebalabiseeko mu bibiina wadde mu bitundu ebimu abakulira ebyenjigiriza bakedde mu masomera kuwandiika abo abakomyewo.