Okuzzaayo empapula: Democratic Front egamba 43 be bazze olwaleero
Akakiiko k’eby'okulonda mu kibiina ki Democratic Front kagamba nti olwaleero kasobodde okufuna abantu 43 abakomezzaawo empapula eziraga nti betegefu okukwatira ekibiina kino bendera n’okwagwanyiza ebifo ebyenjawulo mu kalulu kaabona aka 2026. Bano bagamba nti abantu abanaakwatira ekibiina bbendera bagenda ku kakasibwa abantu okuva mu bitundu gye bagenda okukiikirira. Abamu ku bakomezaawo empapula bagamba nti kino ky'ekibiina kyokka ekigenda okubatuusa ku lyengedde Bino bibadde ku kitebe ky’ekibiina kino wano mu Kampala.