OKUYINGIRA UGANDA: Gav’t eddirizza ebiragiro eri abava e Buyindi
Gavumenti emaze neddiriza mu bukwakkulizo eri abantu abayingira eggwanga okuva mu mawanga agaali mu Category One nga gano gassibwako envumbo olw'okuvaamu ekika kya Covid ekikambwe. India ly'erimu ku mawanga gano wabula ng'abakulu bagamba nti abavaayo basobola okukkirizibwa okujja mu ggwanga nga baliko obukwakkulizo bwe batuukiriza Bbo abaddukanye ekisaawe ky'ennyonyi E Ntebe bagamba nti ebyamaguzi ebiyita ku kisaawe ekino byeyongeddwa wewaawo ng'abantu abayita kukisaawe bakendedde.