OKUWAKANYA OMUDUMU GW’AMAFUTA :Abayizi abawagira ekiteeso ky’abazungu bakwatiddwa
Poliisi ekutte abayizi ba university ya Makerere ne Kyambogo abakedde okwekalakaasa nga batwala ekiwandiiko Ku kitebe ky'omukago gw'amawanga g'abulaaya oba European Union ekirimu okwemulugunya kwabwe Ku by’okuzimba omudumu ogugenda okutambuza amafuta ga Uganda okuva e Bunyoro okutuuka e Tanzania gyekukwatiddwamu.Abayizi bano basemba eky’omukago gwa Bulaaya okuyimiriza enteekateeka z’okuzimba omudumu guno wabula okusinziira ku poliisi okwekalakaasa kw’abano tekubadde mu mateeka era baakuggulwako omusango gw’okukuma mu bantu omuliro.Kinajjukirwa nti ssabiiti ewedde waliwo abaana b’amasomero abeekalakaasa nga bavumirira eky'omukago gwa Bulaaya okwekiika mu by'amafuta ga Uganda , bano nga Poliisi yabawa n'obukuumi.