OKUTUMBULA EMBEERA Y’ABAZANNYI B’OMUPIIRA: Aba KCCA FC baakuweebwa ensimbi z’okwewola
Minisita omubeezi wa Kampala Kabuye Kyofatogabye ategezeeza abazannyi ba KCCA FC nti wakwenyigira mu kawefube ow'okulwanyisa omuzze gwa baliko abazannyi b'omupiira okutandika okusabiriza nga ayita mu kubaterawo obukadde kikumi bwebanewola basobole okwekulakulanya nga bakyasamba omupiira. Ono era awadde abazanyi essubi nti bakyasobola okuwangula liigi y'omwaka guno wadde nga bakyakulembeddwa tiimu ya Vipers n'obonero mwenda nga ebula emipiira musanvu.