Okuting’ana mu kalulu: Ssaabapoliisi abadde Isingiro kubakakkanya
Kisaliddwawo nti abavuganya okufuna kaadi y'ekibiina ki NRM mu district y'e Isingiro baakusigala nga batambulira wamu wabula nga bakulemberwamu ab'ebyokwerinda. Kitegeerekese nti ekitundu ky'e Ruyanga ky'ekisinze okuvaako emberebezi eyaviirako n'abantu babiri okufiirwa obulamu gyebuvuddeko, era ng'eno teri akkirizibwa kugendayo bw'omu. Ssaabaduumizi wa poliisi Abbas Byakagaba asiibye eyo nga bayiiya engeri kampeyini gye zinaggwaamu nga tewazzeemu kubaawo kuyiwa musaayi.