OKUSUNSULA KASASIRO: Kisaka alambudde ekifo ekipya
Ekitongole kya KCCA kiteekateeka okutandika okuyiwa Kasasiro mu kifo ekipya eky’e Ddundu ekiweza yiika 135 mu bbanga lya myaka 3 okuva kati. Olwaleero, Nnankulu wa Kampala Dorothy Kisaka alambuddeko e Kiteezi nga kati eno, waakuwummulizaayo buwummuliza Kasasiro ava mu kibuga n’okusooka omusunsula oluvannyuma atwalibwe e Ddundu.