OKUSOMA KW’ABAYIZI: Ab’amasomero ga nnassale basisinkanye Kadaga
Ekibiina ekitaba abasomesa, abazadde, n'e bannannyini masomero agatandikirwako omuli nnassale, ne Day care basisinkanye sipiika wa paalamenti Rebecca kadaga ne bamwanjulira ensonga lwaki amasomero gaabwe nago gasaanye gaggulwe nga ekisinga obukulu kya kuba nti abaana abato emikisa gyabwe egy’okukwatibwa saako okwesiiga covid19 mitono ddala. Sipiika, abasuubizza nga ensonga zaabwe palamenti bwegenda okuzitunnulamu