OKUSANYAAWO EBIBIRA: Waliwo enkola ereteeddwa okubirondoola
Uganda eyolekedde okufiirwa ebibira byaayo byonna singa ebikolwa eby’okubisanyaawo saako n’okubyesenzaamu tebirinyibwa ku nfeete. Okunoonyereza okwakoleddwa ekitongole ekibala abantu mu gwanga ki UBOS kulaze nti wakati wa 1990 ne 2021, ebibira bikendedde okuva ku bitundu 24% okutuuka ku bitundu 8.9%. Kati mu ngeri y’okutaakiriza embeera, waliwo enkola ya tekinologiya egenda okweyambisibwa okulondoola embeera y’ebibira wamu n’okulwanisa ebikola by’okubisanyaawo.