OKULONDOOLA EMIRIMU GYA GAV’T: Abakulembeze b’abavubuka mu Kampala babanguddwa
Abakulembeze b'abavubuka okuva mu gombolola taano ezikola ekibuga Kampala ku mutendera gwa Youth Council bakomekereza okutendekebwa kwebabaddeko e Kaazi mu district ye Wakiso. Okutendekebwa bano kwebabaddeko kubaddemu okubayigiriza okuba n'omwoyo gwe ggwanga, engeri y'okwekulakulaanya sako n'okuba abasaale mu kulondoola enteekateekza za gavumenti. Omusomo guno gutegekeddwa aba ekitebe National Secretariat for Patriotism.