Okulonda mu Kawempe North, abavuganya balonze ne bawera okukola
Olwaleero abantu ekkumi abavuganya ku kifo ky’omubaka wa Kawempe North nabo beegasse ku banna Kawempe okulonda anaabakiikirira.Betusobodde okwogerako nabo benyamivu olw’okulonda okutandika ekikeerezi, ab’ebyokwerinda abayitiridde mu bifo awalonderwa, nga bagamba nti bino byonna bigendereddwamu kutiistiisa balonzi.